Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 296 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Poliisi ekutte ababadde babbira ku booda booda e Salaama

March 16, 2021 · Mubiru Ali
FLYING SQUAD MWEBALE MWAKOZE OMULIMU;
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo natendereza omulimu ogwakoleddwa ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obubbi bw’emmundu ekya Flying Squad, oluvannyuma lw’okukwata abantu 5 ababadde benyigidde mu kunyaga abantu nga bakozesa booda booda.
Bano okukwatibwa kyadiridde okubba Bukenya Patrick 40, nga 19/02/2021, ku ssaawa bbiri ezekiro bwebaali batambulira ku piki piki nnamba UDF 976Q, TVS, nga myuufu eyakuba enduulu eyasomboola abaduukirize nebakwata Munywevu Derrick. Bweyabuzibwa ono nalokoma banne bwebabadde bakola era 4 bano nebakwatibwa nga kuliko; Businje Charles, Lines Stuart, Nsubuga Bashir ne Nalugwa Shadia.
Ne Piki piki endala bbiri zakwatiddwa okuli; UDF445F ne UER 789H. Bano babadde bavuga akawungeezi nebabba amasimu n’ensawo ku bantu abantambula ku luguudo lwa Salaama โ€“ Makindye โ€“ Bunamwaya โ€“ Rubaga, babadde banyakula oba okukuba abantu olwo nebabulawo.