Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi ekutte abababba Piki piki e Soroti

Uganda Police Force mu bitundu bya East Kyoga egudde mu kabondo kababbi ba Piki piki. Ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obubbi ekya Flying Squad kyakoze ekikwekweto mwekyakwatidde ababba piki piki nga bano ekibinja kyabwe kibadde kisinziira mu kibuga ky’e Soroti.
Eyakwatiddwa y’e Okiror Cosmas John, nga ono okukwayibwa kyadiridde Poliisi okukwata munne Otwa Isaac gweyaggye mu Disitulikiti y’e Lira. Ye munaabwe Okello Joshua yadduse. Bano basangiddwa ne Piki piki ezabibwa okuva e Gulu okuli nnamba; UES 402G ne UFB 550H endala zebasangiddwa nazo kuliko; UFA 268M, UEY 937T, UEX 233Y, UEW 215P, UEV 631Q, UEV 483Q, UFA 347E ne UAF 104Z.
Bano bwebabuuziddwa bategeezezza nti Okiror yabadde agula n’okutunda Piki Piki zebabbye. Poliisi egamba nti bano babadde babba Piki piki okuva mu bitundu by’e; Aswa, North Kyoga, East Kyoga ne Elgon.
ASP ONGOM DAVID MUDONG
PRO EAST KYOGA

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort