Breaking
News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza…. News: Liirino eggwanga lyabantu ngomusajja okuwasaayo atwala mitwe gya nte ne bamuwa omuwala singa gimulema okwanjula kuba kugaanyi.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 199 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Poliisi ekutte 8 kubyekuusa ku ttemu e Masaka

September 23, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi w’Ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Ggwanga ekya CID, Charles Twiine avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda bwebakutte abantu 8 abateberezebwa okuba nga benyigira mu ttemu, okugezaako okubba wamu n’obubbi mu kibuga Masaka.
Abamu kubakwatiddwa bazuuliddwa Kkamera za Poliisi enkettabikolwa era nabakwatibwa DPC w’e nsangi. Piki piki emu yeyazuuliddwa, bano bwebakunyiziddwa Poliisi 3 ku bbo bakirizza emisango era nebayamba ku Poliisi okunoonyereza ku balala.
Poliisi egamba nti etandise omuyiggo gwoyo abadde agula Piki piki zino enzibe.