poliisi ekutte 8 e masaka ku by’okuwamba omwana

Poliisi ekutte abantu 8 ku bigambibwa nti benyigidde mukuwamba omwana omuwala ow’emyaka 2 Nawanyana Favour muwala wa Ssewanyana Ben ne Nabukenya Sylvia nga batuuze b’e Lwamaggwa mu Rakai. Omwana yabula nga 20/11/2018 olwo nga 21/11/2018, abamuwamba nebakubira bazadde be nebasaba obukadde 4 mu emitwalo 60 abazadde nebazibaweereza era nebabalagirira wa omwana weyabadde asuuliddwa mu ttawuni y’e Kyotera.

Omwana yazuuliddwa, omuyiggo gwababadde bamuwambye negutandika era nannyini layini y’essimu okwaweerezeddwa ssente Kiwanuka Martin nakwatibwa bwatyo n’abatuusa ku bantu abalala 7.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
South Africa yaakwabulira kkooti y’ensi yonna