Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 452 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

POLIISI EKUTTE 58 ABAGAMBIBWA NTI BENYIGIRA MU BUBBI

October 14, 2021 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo; “Oluvannyuma lw’abatuuze b’e Kisangani ekisangibwa mu Masajja A Zone Masajja Parish, Masajja Division okwekubira enduulu olw’ababbi ababasuza tebebase n’ebitundu ebirala ebya Kampala, Poliisi y’e Katwe olunaku lweggulo yakoze ekikwekweto mweyakwatidde abantu 58 abagambibwa okuba nga babadde benyigira mu bubbi nga balumba ennyumba ezipangisibwa mu Salaama, Masajja, Mutundwe ne Bunamwaya.
Mu kikwekweto ekyakoleddwa Poliisi yazudde ebiragalalagala, amajambira, ebyuuma ebikozesebwa okumenya amayumba ne gloves zebakosesa okubikka ebinkumu.”