Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 290 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi ekutte 4 ku Disitulikiti y’e Kaliro

July 15, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva mu Maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force wamu ne ISO kakutte Hamome Nimrode Senior Procurement Officer, Diogo Paul Acting Natural Resources Officer ne Nkyadi Laban Senior Assistant Accountant aba Disitulikiti y’e Kaliro kubigambibwa nti bafiiriza Gavumenti obuwumbi 6 n’obukadde 500 nga bazisala ku musaala gw’abakozi wamu ne ssente za Gavumenti endala nga bayita mu SACCO y’abakozi.
Abalala abeyokyezza ensiko nga bakyanoonyezebwa kuliko; CFO Mutume Godfrey ne Principal Resources Officer Rebecca Kwagala.