Poliisi ekutte 3 mububbi bw’emotoka

Ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obuzigu bw’emmundu ekya Flying Squad Unit kikutte abasajja 3 kuby’okubba emotoka. Paul Lubega, Muhammad Lutaaya ne Yahaya Mafabi, nga bonna batuuze be Nansana-Ganda.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire akakasiza okukwatibwa kwabano. Bano basangiddwa n’emotoka bbiri enzibe 2 okuli Toyota Premio nnamba UBA 738K ne Ipsum nnamba UAW 957B.

Kiteberezebwa nti bano bebali emabega w’okubba emotoka mu Kampala. Lutaaya bweyakwatiddwa yategezeza Poliisi nti emotoka zino yazifuna okuva ku Mafabi ne Lubega nabo abakwatiddwa.

Owoyesigyire agamba nti emu ku motoka zino yabibbwa okuva ku luguudo lw’entebe wiiki bbiri eziyise era nga babadde baginoonya. Β Bano basangiddwa n’ebintu ebikozesebwa okumenya amayumba n’emotoka omuli Master Keys wamu ne TV 2 ezirowoozebwa okuba enzibe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
zaake aweereddwa bail