BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Poliisi ekutte 3 e Bugweri

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Bugweri eriko abantu 3 bekutte bagiyambeko mu kunoonyereza kubikwatagana n’obubbi bwa waya z’amasanyalaze n’ebintu ebirala ebya Rural Electrification Agency.
Abakwatiddwa kuliko; Masuubo Rogers, Kagere Rajab ne Mugwana Rasuuli nga bakuumirwa ku Poliisi y’e Busembatia ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.
Waliwo ne munaabwe omulala eyategeerekeseeko erya Fahad eyadduse naye nga anoonyezebwa, bano babadde beyambisa emotoka ekika kya Isuzu Elf nnamba UAT 525S nga basangiddwa mu bitundu by’e Namunyumya mu Gombolola y’e Namalemba.
Supervisor wa Project eno eya Rural Electrification Agency Muky. Mary Mutesi asabye abantu okuloopa abantu abenyigira mu kubba waya n’ebintu ebirala eby’amasanyalaze, byebakozesa mukuzimba n’okubunyisa amasanyalaze mu Disitulikiti y’e Bugweri naddala mu Gombolola y’e Namalemba.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply