Uganda Police Force ewaliriziddwa okukozesa omukka ogubalagala wamu n’amasasi okugumbulula Bannakisinde kya People Power – Uganda eky’Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ababadde bawerekera abantu baabwe okuzzaayo empapula z’okusaba kwabwe okuwagirwa ekisinde kino mu kalulu kabonna aka 2021.
Poliisi ekubye tear gas n’amasasi e Kamwokya

