Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 225 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu b’e Mbogo

October 17, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force wamu n’eggye lya Uganda People’s Defence Force – UPDF bakozesezza amasasi wamu n’omukka ogubalagala okugumbulula abataka b’ekika ky’e Mbogo ababadde ku mukolo ku butaka e Mugulu, Ssingo olunaku olwaleero.
Ab’ekika babadde bategese omukulo ogw’emisa okwebaza Omukama Katonda olw’emyaka 7 nga Jajja Kayiira Gajuule akulembera olukiiko lw’Abataka ba Buganda.
Bano ababadde banekedde mu makanzu ne gomesi nga balinga 40 babunye emiwabu nga n’emisa ebadde ekulembeddwa Bishop Kaggwa ekomye mu kubo.
Abavubuka abawerako bakwatiddwa ne batwalibwa ku Poliisi e Mityana.