Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,199 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Poliisi ekitegeddeko nti wali abetegese okwekalakaasa

March 8, 2021 · Mubiru Ali
TUGENDA KUBAKWATA TUBASIBE;
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo; “Tufunye amawulire agesigika nti waliwo ekibinja kya Bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya Gavumenti nga bategese okwekalakaasa n’okukola efujjo nga bonoona ebintu okwetoloola eggwanga lyonna nga batandikira mu Kampala n’emiriraano nga 9-3-2021.
Abategese okwekalakaasa kuno okutali mu mateeka bakunze abantu nga bakozesa ‘social media’ wamu n’okusuula ebipapula okuli ebiwandiiko okuli; “Time is Now. Join Nationalwide protests to fight for our victory.’ (Ekivuunulwa; Akadde kekano. Mutwegatteko mu kwekalakaasa okwetoloola eggwanga lyonna tubanje obuwanguzi bwaffe.) M7 Tajja Kulayira”.
Tuyungudde basajja baffe okwanganga ebikolwa bino ebitali mu mateeka.
Twagala okulabula abo bonna abategese ebikolwa bino ebimenya amateeka okubivaako. Poliisi tegenda kulonzalonza kubakwata okubatwala mu Kkooti bavunaanibwe.”