Breaking
News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 374 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi egenda kukwata mwenna abagamba nti Oulanyah yafa butwa – CP Enanga

March 28, 2022 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwemaze okuggulawo omusango ku kitebe kya CID e Kibuli oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okubalagira okunoonyereza kwabo bonna abavaayo nebategeeza nga Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah bweyafa obutwa.
Enanga agamba nti bakungaanyizza dda obutambi bwabo abavaayo nebakyasanguza nti yaffa butwa obuwerako nti era oluva mu kuziika bagenda kubayita babitebye.