Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 251 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Poliisi egenda kukwata emotoka ekika kya drone ezikola takisi nga tezirina bikuubo

November 14, 2022 · Mubiru Ali

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka Faridah Nampiima avuddeyo nalabula abo bonna abavuga takisi ekika kya drone ezitalina layisinsi PSV wamu n’ebikuubo ku luguudo lw’e Ntebe wamu nolw’e Jinja okukikomya obunnambiro. Ono ategeezezza nti baweereddwa enaku 2 zokka okutuusa nga 16-November-2022 kuba bagenda kukola ekikwekweto batwalibwe mu Kkooti. Ono agamba nti tebagenda kukubwa bipapula byangasi wabula okutwalibwa mu Kkooti.

Uganda Police Force evuddeyo nekubiriza abavuzi ba booda booda bonna okugondera ennyo amateeka g’okunguudo wamu n’okubeera abaguminkiriza wamu n’okwombala helment. Omwogezi w’Ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka Faridah Nampiima avuddeyo nayanukula Loodi Meeya Erias Lukwago ku byeyagambye nti agenda kutwala Poliisi mu Kkooti olwokukwata aba booda booda.