POLIISI EGENDA KUDDAMU EBIKWEKWETO KU MABBAALA N’EBIFO EBISANYUKIRWAMU

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi wa Uganda Police Force, IGP John Martins Okoth Ochola avuddeyo nawa ebiragiro ebiggya eri abaduumizi ba Poliisi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo kukuteekesa ebiragiro ebyateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 naddala ku mabbaala, ebifo ebiriirwamu wamu n’ebyo ebisanyukirwamu n’ebirala ebikungaanya abantu.
Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire, omwogezi wa Poliisi CP Fred Enanga agambye nti abantu babadde tebakyagoberera biragiro bino nga balemeddwa n’okukozesa amagezi gaabwe amazaale nga besuulirayo gwannagamba ku kirwadde kya COVID-19.
Ayongeddeko nti Abaduumizi abanalemererwa okuteekesa ebiragiro mu nkola bandifiirwa emirimu gyabwe era batwalibwe ne mu Kkooti ya Poliisi bavunaanibwe.
Share.

Leave A Reply

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro