Breaking
News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo wano e Bukoto ku Simba.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 82 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Poliisi egamba nti Ariho yamukutte lwakukuma mu bantu muliro

December 4, 2020 · Mubiru Ali
Uganda Police Force evuddeyo nekakasa nga bweyakutte omu ku bakuumi ba Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, Ariho Elba aka Nobert Elber Arihonga emukwatidde Buhuro, Manafwa ku ssaawa ttaano n’ekitundu.
Poliisi egamba nti ono akwatiddwa ku misango egyekuusa kukulumba n’okukulumya ogwawabibwa e ku Poliisi e Kayunga CRB 829/2020, okukuma mu bantu omuliro wamu n’okuziyiza okukwakwasisa amateeka mu lukungaana olwali mu ttawuni y’e Kyampisi nga 1-12-2020 ogwawabibwa ku kitebe kya CID GEF 1172/2020.
Wabula kinnajukirwa nti omwogezi wa Poliisi CP Fred Enanga yavaayo nategeeza nti ono anoonyezebwa ku misango egyekuusa ku kakebe ka teargas akatulikira ku motoka eyali erinaanye Kyagulanyi.