Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 757 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Poliisi efunnye akatambi akalaga ani yatta Munnakisinde kya People Power

March 6, 2020 · Mubiru Ali

Omusuubuzi gwebatatuukirizza mannya okuva Nansana Municipality avuddeyo nawa Poliisi akatambi akakwatibwa Kkamera enkettabikolwa akooleka ebyaliwo nga Munnakisinde kya People Power – Uganda Daniel Kyeyune akubwa essasi mu liiso eryamuttirawo. Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga abakugu okuva ku kitebe kya Kawempe Regional Police bwebasobodde okufuna akatambi kano.
Enanga agamba nti akatambi kano kalagira ddala omuntu eyakuba Kyeyune essasi n’embeera gyeyalimukubiramu. Kyeyune yakubwa essasi eryamuttirawo Uganda Police Force nabebyokwerinda abalala bwebakuba amasasi mu bantu abaali mu luseregende n’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nga bava okuziika omuwagizi wa People Power our power Rita Nabukenya mu Disitulikiti y’e Kiboga.