Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 354 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi eboye ebyambalo bya NUP e Jinja

October 29, 2020 · Mubiru Ali
Uganda Police Force e Jinja ezinzeeko offiisi za National Unity Platform – NUP ezisangibwa ku Main Street okuliraana Igar Hotel newamba enkofiira emyuufu, ebiwandiiko by’ekibiina wamu n’ebifaananyi byabesimbyeewo.
Ekikwekweto kibadde kiduumirwa DPC wa Jinja Hasunira Mohammed ne OC Operations Natumo abakutte Saulo Nsongambi akola mu offiisi eno wamu neba Coordinators 2 abasangiddwa mu offiisi.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Kiira Hajji Abbey Ngako agamba nti kino kikoleddwa okubowa ebyambalo byonna ebyefaananyiriza eby’amaggye era nasaba n’abantu bonna ababirina okubiwaayo mu bwangu ddala nga tebanakwatibwa.