Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi ebasuuzizza Safe ebaddemu obukadde 82

August 8, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ya Jinja Road egudde mu lukwe lw’okumenya n’okubba bwetyo nesuuza ababbi safe ebaddemu obukadde 82 nga babadde bagibye mu warehouse. Safe eno babadde bagibye okuva mu Virony Finefair Uganda Enterprises Ltd esangibwa ku 6th Street Industrial Area ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro.

Abakwatiddwa kuliko Isaac Angura ne Josph Oluka nga bano bakwatiddwa abasirikale ba Poliisi ababadde balawuna ku bigere nga oluvannyuma bayise obuyambi obulala obwa 999 patrol.

Banannyini Kkampuni eno bebazizza Poliisi olw’okutaasa ensimbi zino era nebakakasa nti ssente tezakwatiddwako.