Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 280 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi e Yumbe ekyalemedde ebintu bayffe – Bobi Wine

August 21, 2023 · Mubiru Ali
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo; “Uganda Police Force e Yumbe ekyalemebedde ebintu bya NUP byeyawamba nga 14-August-2023 okuva mu bakunzi b’ekibiina bwebaali bakola emirimu gyabwe mu Disitulikiti.
Bino mulimu kkaadi z’ekibiina, register ya bammemba, Reflector jackets zabavuzi ba piki piki ne T-shirts. Wadde nga tewali tteeka mwebabiremera, abakulu ku Poliisi bagamba nti tebajja kubibawa.
Zino zezimu ku nteekateeka Gavumenti zeyitamu okulemesa ekibiina okukunga bammemba n’obuwagizi mu Ggwanga, wabula bbo abawagira Gavumenti omuli nabakyali mu maggye bategeka enkuŋŋaana.
Temwewuunya nga bino babyambazizza abamenyi b’amateeka okugamba nti babasanze bamenya amateeka oba basaze okuva mu NUP okudda mu National Resistance Movement – NRM.”