Poliisi e Wandegeya ekutte omubbi w’emotoka

Poliisi y’e Wandegeya ekutte omubbi w’emotoka ow’olulango mu Kampala olunaku lwaleero okuliraana Bat Valley ku Bombo Road. Ssemujju Peter yakwatiddwa lubona nga abbye emotoka ekiak kya G-Touring nnamba UAH 886J nga agivuga agitwale ku Bombo Road natomera emotoka endala era abasirikale ababaddewo nebamukwata.
Mukumwaza asangiddwa ne Master Keys era nakiriza nti emotoka abadde agibbye. Ssemujju akuumirwa ku Poliisi y’e Wandegeya nga alindirira okuvunaanibwa ogw’obubbi.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
maama nnabagereka akyaddeko mu kisaakate