Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 493 listening Simba FM Live

Poliisi e Ntungamo ekutte abantu 230

September 14, 2020 · Mubiru Ali
Uganda Police Force e Ntungamo yakutte abantu 230 ekiro kyajjo mweyakoledde ekikwekweto wamu n’eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces ne ISO.
Bano abakwatiddwa babadde basombebwa okuva mu magombolola okuli Rwashamaire, Rubaare, Itojo, Rukoni ne Sheema Municipality nga bano babadde baleetebwa abasimbyewo mu kamyuufu ka

National Resistance Movement – NRM ku kifo kya Mayor owa Ntungamo Municipality nga baagala babalonde.
Bano basangiddwa mu luggya lw’essomero lya Ntungamo High school, London Choice Guest house, Match and mix guest house nga abalala bakwatiddwa mu makubo nga baleetebwa.
Abesimbyewo abenyigidde mu kikolwa kino bakuumirwa ku CPS Ntungamo nga kuliko; Bukenya Ronald, Kafureeka Jacob ne Akim Muhekyi.
Olw’ekirwadde kya #COVID-19 Poliisi ensunsudde mu bano netaako 203 nesigaza 27.
ASP Kasasiira Samson
RWIIZI REGIONAL PRO