Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

Poliisi e Ndejje ekutte ababadde beyita ba offiisa baayo

July 28, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi e Ndejje ekutte ababadde beyita ba offiisa baayo nga bakubira abatuuze nebabatiisatiisa okubakwata n’ekigendererwa ekyokubabba ku bano kuliko Abdul Mutte, Akaya Marvin, Ashraf Sebuliba, Mabirizi Yahaya, Joseph Mutebi, Joshua Male ne Sebayiga Ivan.

ASP. Hillary Tugume nga ye OC Ndejje agamba nti okukwata bano kyavudde ku batuuze ababadde bemulugunya ku nnyumba ey’omuzigo ogumu ebadde ebeeramu abavubuka abasoba mu 12. Poliisi yasitukidde okutuuka mu kifo kino era nebakwata bonna era omu kubakwata nakkiriza nti ddala babadde bakubira abatuuze nga babatiisatiisa nebabajako ssente.

Waliwo omukyala omu gwebakubira essimu nebamugamba nti baali banoonyereza ku musango gw’obutemu ogwamuwabirwa era ne basomera reference y’okumukwata eri mu mannya ge, mukutya yababuuza kyayinza okukola kuba ye tattanga ku muntu nebamugamba abawe miriyooni 10 babuzeewo file zeyabawa.

Abanatu ab’enjawulo bavuddeyo nebalumiriza abavubuka bano okubabba ensimbi eziwereza ddala obukadde 16.