Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 769 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi e Najjeera akutte abadde amenya ennyumba

September 26, 2019 · Mubiru Ali
Poliisi e Najjeera ekutte omusajja abadde amenya amayumba emisana nabbamu ebintu eby’enjawulo. Okusinziira ku Poliisi egamba nti batemezeddwako Ssentebe wa Bulabira LC! Medi Nsubuga eyabategeezezza nti waliwo eyamenye nayingira mu maka ga Nakissa James mu Bulabira Kamwanyi zone.
Nakissa agamba nti yabadde ava ku kima baana be ku ssomero nasanga emotoka ekika kya Toyota Wish nga ya grey UAZ 174Z ngefuluma mu kikomera kye.
Nakissa ayongerako nti wabaddewo omusajja gwatamanyi nga ayimiridde mu lujja lwe nga ayogera n’omuntu ali eyabadde munda mu nnyumba.
Ono yabuuzizza eyabadde mu motoka okweyanjula namutegeeza nti ye Kayiza Yasin era nantegeeza nga ye nnanyini maka ago. Banne abalala olwawulidde nga amukaza nebabuuka ekikomera nebadduka.