Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 195 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Poliisi e Mukono ekutte omusajja lwakulumya Mukyala we

June 25, 2018 · Mubiru Ali

Ephraim Luyira 36, akwatiddwa poliisi ye Mukono lwakuyiira mukazi we Betty Nyamiradayizima amazzi agookya namwokya omubiri gwonna oluvannyuma lw’okuyombagana mu maka.

Olutalo lwavudde ku Luyira okulumiriza Mukazi we nti aloga bajja be. Luyira alina abakyala 3 wabula asanga obuzibu okubagabanya omukwano. Oluvannyuma lw’ebizibu ebibadde bitawanya Family, Luyira yakomyewo natandika okukuba mukyala weย  nga amulangira okuleeta ebisiraani eri bajja be bwatyo n’amuyiira namuyiira amazzi agookya agabadde gafumbibwa ku sigiri n’amwokya omubiri gwonna.

Nyamiradayizima yakubye enduulu eyasombodde abatuuze abazze okumuyamba bwebatyo nebayita Poliisi eyazze nekwata Luyira bweyabadde agezaako okudduka.