Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 230 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Poliisi e Mbale ezudde emmundu eyasuuliddwa mu mugga

January 24, 2022 · Mubiru Ali
Uganda Police Force e Mbale ezudde emmundu egambibwa okuba nga ebadde ekozesebwa abazigu mu kutigomya abantu n`okubabba, emmundu eno yasuuliddwa mu mugga Namatala ku luguudo oluva e Mbale okudda e Soroti, abatuuze abakeera okwoza piki piki nemotoka mu mugga guno bebaalabye emmundu eno ne bakubira Poliisi nayo nejja okulaba ogubadde.
Akulira ebikwekweto ku Poliisi e Mbale ASP Arafat Kato yategeezezza nti emmundu eyazuuliddwa kika kya AK47 naye yabadde teriiko magaziini nga kiteberezebwa okuba nga yasuuliddwaawo abazigu mu budde bwe kiro nga erabika ebadde ekozesebwa mu bumenyi bwamateeka nga kirabika yasuuliddwa lwakutya kubalondoola.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Tayitika yagambye nti Poliisi ekyagenda mu maaso n`okunoonyereza engeri emmundu gyeyasuliddwaawo, akazito Poliisi ketadde ku babbi n’abamenyi b’amateeka kirabika kye kyavuddeko ababbi okusuula emmundu ngebalemeredde.
Bya; Waaki Moses