Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 286 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

poliisi e lwengo esuuzizza ababbi ente 6

March 13, 2019 · Mubiru Ali

Abasirikale ba Poliisi ababadde balawuna ekiro ku kyalo Kalugulu mu Sub-County y’e Kisekka mu Disitulikiti y’e Lwengo ku luguudo oluva e Kiwangala okudda e Kaliisizo basuuzizza abantu abatategeerekese ente 6 ezirowoozebwa nti nzibe.

Bano babadde bagoba ente zino mu kiro era bwebayimiriziddwa Poliisi, bataddeko kakokola tondeka nnyuma okukakana nga babuzeewo. Poliisi yagobye ente zino okuzituusa ku Poliisi y’e Kiwangala nga bwerindirira bannyini zo okuzikima.

Poliisi egamba nti singa banyini zo tebazikima mu bwangu Poliisi yakugenda mu maaso efune ekiragiro kya kkooti ekigikiriza okutunda ente zino kuba tebalina webazikuumira.