Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 310 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi e Luweero ekutte omukazi asazeeko omusajja obulago lwa nnusu 6000

August 1, 2023 · Mubiru Ali
Uganda Police Force e Luweero ekutte omukazi ategeerekeseeko erya Namanya ow’emyaka 33 nga kigambibwa nti yasazeeko Moses Bakka omutwe lwakugaana kumusasula ssente zebaabadde bakaanyizzaako oluvannyuma lw’okuwaya aka kyagera n’okumugabira ebyalo by’e Bulemeezi.
Okusinziira ku omwogezi wa Poliisi mu Disitulikiti y’e Luweero, ASP Sam Twineamazima, agamba nti Bakka yagenze ewa Namanya nga bakkaanyizza amuwe omutwalo gumu, nti kyokka oluvanyuma lwo kukubirira ekinakanaka ono yasiseeyo 4000 ekyatabudde Namanya okukakkana nga asiseeyo akaso namusala obulago.
Namanya kati akuumirwa mu kaduukulu ka Poliisi e Luweero.