Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 330 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Poliisi e Kisoro ezudde emmundu ekika kya SMG nga esuuliddwa

June 21, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi e Kisoro ezudde emmundu ekika kya SMG nga esuuliddwa ku mabbali g’ekubo. Kirowoozebwa nti emmundu eno yakitongole ekikuumi eky’obwananyini ekya RPS, emmundu nnamba SAR NO.UG POL K425455-105348 nga yasangiddwa ku kyalo Nyamushungwa, mu Nyarusiza mu ggombolola y’e Kisoro. Omwogezi wa Poliisi e Kigezi Elly Maate yakakasiza kino.

Yayongeddeko nti emmundu yasangiddwa nga esuuliddwa mu muddo ebbali w’ekubo nga yakitongole eky’obwanannyini ekya RPS. Eno yasandiddwa essasi limu nga amasasi amalala asatu tegamanyiddwako mayitire nti era Supervisor wa RPS yali yaloopa okubula kw’emmubu eno wamu n’omukozi waabwe Nsenjiyunva Robert.