Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 248 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Poliisi e Kassanda ekutte loole zemiti

November 19, 2022 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettundutundu lya Wamala Kawala Rachael avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Kassanda bwekutte loole 7 ezibadde zetisse emiti mu Gombolola y’e Kikandwa nga kigambibwa nti zibadde zoolekera Kampala ekimenya ekiragiro ekyateereddwawo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Loole zino zisimbiddwa ku Kassanda CPS nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso. Ono ategeezezza nga Poliisi bweyongedde okukola ebikwekweto mu Disitulikiti y’e Kassanda wamu ne Mubende okuteekesa ebiragiro byokulwanyisa ekirwadde kya Ebola mu nkola. Loole ezikwatiddwa kuliko; UAE 481B, KCK trailer 251V trailer, UBH 680N TATA 10, UBL 774J TATA, UBM 624B TATA, UBH350V fuso.