Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 525 listening Simba FM Live

Poliisi e Kabale ekutte 4 abagambibwa okubeera ababbi

April 23, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force e Kabale bakutte abavubuka 3 lwakusangibwa n’ebintu ebigambibwa okubeera ebibbe. Bano kuliko; Kamukama Onesmus 18, nga mutuuze w’e Rushaki cell, Twinamasiko Bright okuva e Nyakijumba cell ne Twongyirwe Ronald 20, nga mutuuze mu Mwibale cell, ebisangibwa mu Kabale Municipality.Bano basangiddwa ne Computer, battery y’emotoka, essaati n’empale empya, engoye z’abaana, jacket, engatto, emifaliso, amasepitti, ebyuuma ebukozesebwa okumenya n’enkoko.Mu ngeri yemu Poliisi era yakutte Twinamasiko Davis 26, nga mutuuze w’e Rushaki cell, Kirijime ward, ono nga yasangiddwa n’emizindaalo 2, gas cylinder, mixer ne Computer 2.
📸Bya IP Elly Maate Mwogezi wa Poliisi mu Kigezi Region