Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 381 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi e Kabalagala ekutte abanyakula amasimu ku bantu

April 9, 2020 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Kabalagala yakoze ekikwekweto ekyakulembeddwamu OC wa Muyenga Police Post ku ssaawa kkumi nga eruubirira okukwata abanyakula amasimu ku batuuze abadda awaka. Mu kikwekweto kino Poliisi yakwatiddemu Ocheme Charles 27, nga muvuzi wa Boodabooda nga mutuuze mu zooni y’e Muwafu.Oluvvanyuma Ochema yakulembeddemu Poliisi nagitwala mu Muluka gw’e Wabigalo ewa Sseguya Ivan 27, nga akanika masimu ku Hanifa Towers mu Kampala nga kigambibwa nti yabadde agula amasimu ne Laptop ezibbibbwa.Sseguya yasangiddwa ne Wahab Taban 24, nga muvuzi wa Booda booda era omutuuze mu Muwafu Zone. Mukwaza ennyumba ya Ivana, @Uganda Police Force yasanzeemu;- 01 Apple laptop – 30 iPhones- 14 other phones (samsung, Intel, infix)- 31 dismantled phones- 01 Smile mi-fi.- 35 smart phone covers- 02 laptop chargers- 06 phone charging cables. Bano bonna bakuumirwa ku Poliisi y’e Kabalagala nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.