Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 1,317 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi e Iganga ekutte Ddereeva w’emotoka ya Ministry of Health

April 14, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force e Iganga nga eri wamu ne n’Omumyuka wa RDC mu Disitulikiti y’e Iganga Omw.Gad Rugaju Ahimbisibwe bakutte Ddereeva w’Emotoka ya Gavumenti esaabaza ‘sample’ #COVID-19 nga abadde azijja mu Ankole Region nga azitwala Ntebe ku Uganda Virus Research Institute wabula nasalawo kugenda nazo ku mukolo gw’okwanjula e Iganga. Osama Majidu Ngobi nga avuga motoka ekika kya Double Cabin Silver nnamba UBF 877Y ye yasazeewo okutikka ab’enganda ze abawerako nebagenda ku kyalo Buwongo mu Ggombolola y’e Nakalama e Iganda ku mukolo gw’okwanjula.
Ku mukolo lwasangiddwako Abantu 30 nga nakyo kimenya mateeka era 14 ku bbo bakwatiddwa.