Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 398 listening Simba FM Live

Police yeerayiridde okukwata aba Bodaboda abawerekera Besigye

April 19, 2016 · Mubiru Ali

Police erangiridde okukwata abavuzi ba Bodaboda abwerekera Col. Dr. Kizza Besigye buli lw’aba aggya mu Kampala .

Fred Enanga ayogerera Police agamba nti aba Bodaboda bano baleeta akavuyo n’omugotteko gw’ebidduka. Enanga ayongera okukakasa nti abaserikale bavunaanyizibwa ku bidduka mu Kampala bamaze okuweebwa ebiragiro okubowa pikipiki zino kubanga gyebakoma okumuwerekera , n’okutyoboola amateeka amateeka g’ebidduka wamu n’okutaataaganya emirimu mu kibuga .