Kooti etaputa ssemateeka ewadde ensala yaayo ku musango ogwawaabwa ku kugaana kabaka okulambula essaza lye erye Bugerere mwaka gwa 2009.
Kooti etaputa ssemateeka etuddeko abalamuzi bataano abakuliddwamu omulamuzi Remmy Kasule, ย nga basatu ku bo basazeewo nti Police yali nkyamu okugaana kabaka okugenda e Bugerere ekyavaako obwegugungo obwamaanyi abamu mwebaafiira ate abalala ne basibwa, songa ate abalamuzi ababiri bagamba nti police yali ntuufu.

