Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 37 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Police yaakwongera okuyiwa ab’ebyokwerinda mu kalulu ka Kyaddondo East – Kasingye

June 26, 2017 · Mubiru Ali

Police egamba nti egenda kwongera okuyiwa ab’ebyokwerinda era eyongere okubinyweza mu Konsitiwensi y’e Kyaddondo ey’obuvanjuba nga beeteekerateekera okulonda okw’okujjuza ekifo ky’omubaka mu Palamenti ow’ekitundu kino okw’okubeerayo olwokuna luno. 

Bino byogeddwa Omwogezi w’ekitongole ekya Police mu ggwanga,  Asan Kasingye bwabadde ayongerako ne bannamawulire ku kitebe kya Police e Naggulu mu Kampala. 

“Director wa Operations akimanyi bulungi era mu Planning zaffe Kyaddondo tugitunuulira n’eriiso jjogi. Akalulu kano kagenda kuba ka mirembe”. Asan Kasingye bwayogera.