Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 133 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Police yaakuzimbira abaserikale ebisulo ebiri ku mulembe – Kayihura

July 3, 2016 · Mubiru Ali

Police ya Yuganda egamba nti  yaakutandika kaweefube w’okuzimbira abaserekale ebisulo ebiri ku mulembe okwetoloola eggwanga lyonna .  

Ssaabaduumizi wa Police mu ggwanga General Kale Kayihura agamba nti kiswaliza ddala okulaba nga ebitebe bya Police ebimu bikyalina obuyumba obwazimbibwa mu biseera by’abafuzi b’amatwale  obuswaliza ddala ekitongole kya Police .

Kayihura ayongerako nti kaweefube ono agendererwamu okuzimba ebisulo by’abaserikale ba Police ku kitebe kya Police e Naguru ate oluvannyuma kino kisaasaanire ebitebe bya Police wonna mu ggwanga .

Mu ngeri y’emu Kayihura alagidde abaserikale okwongera amaanyi mu mulimu gw’okukuuma n’okulawuna ebitundu kiyambeko ku kukendeeza obumenyi bw’amateeka