Police mu Kampala ekutte ow’emyaka 22 lwakulimba nti bamuwambye

Amina Mirembe 22, kigambibwa nti yakubidde muganzi we James Mugoda nga amugamba nti abasajja babiri bamuwambye era basaba emitwalo attaano ng’omusingo.

Muganzi yaddukiddewo ku Poliisi e Ntinda nawaba omusango, wabula oluvannyuma lwa Muganzi we obuatamuweereza ssente Mirembe yamukubidde namutegeezanga bweyabadde anunuddwa poliisi. Poliisi yagenze mu maaso n’omuyiggo ere yamusanze ku buliri bwe nga azanye game ku ssimu ye era nga tewali kabonero kalaga nti yabadde awambiddwa.

Oluvannyuma lw’abasirikale okumukunya yategezeza nga bweyabadde amugezesa alabe oba nga amwagala era nga afaayo.

Mirembe akuumirwa ku poliisi ya Kira Road wanagibwa atwalibwe mu kkooti.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ab’ebibaluwa kati balumbye Mubende