Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 267 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Police eyungudde abawanvu n’abampi okumalawo okulwanagana mu Amuru Disitulikiti

June 13, 2016 · Mubiru Ali

Eby’okwerida byongedde okunywezebwa mu Disitulikiti ye Amuru mu mambuka ga Yuganda okumalawo okulwanagana kw’amawanga okwabalukawo mu sabbiiti ewedde .

Kino kiddiridde abantu abamu okufiira mu bulumbaganyi bw’Abacholi ku bantu abaasengayo nga baava m masekkkati ga Yuganda . Disitulikiti ye Amuru eno eriraanye olutindo lwa Karuma ng’oyolekera amambuka ga Yuganda , era wano abantu bangi baava mu bitundu bya Buganda ne beesoloza ebibira mu Disitulikiti eno okutema amanda .

Wabula ku lwokuna lwa sabbiiti ewedde Abacholi nga babagalidde amajambiya, embazzi, obuso n’ebissi ebirala baakola olulumba ku basenze nga baagala baamuke ettaka lyabwe  .

Obulumbaganyi buno bwakolebwa oluvannyuma lwa omu ku batuuze okubbibwako Pikipikiye nga bbo bagamba nti obubbi buno bwandiba nga bwakoleddwa basenze .

Omu ku beerabidde n’agage ategeezezza Radio Simba nti abamu ku bakulemebeze b’ekitundu kino be bakuma omuliro mu bantu okubagobaganya .

Wabula Radio Simba egezezzaako okwogerako n’ayogerera Police mu bitundu bye Aswa Jimmy Okema ku nsonga zino , kaweefube n’agwa butaka nga takwata masimu .