Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 347 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Police eyongedde ggiya mu kutaayiza obubenje – Kampala

November 9, 2016 · Mubiru Ali

Nga twolekera ebiseera by’akayisanyo eby’ennaku enkulu, Police mu Kampala etaddewo ekikwekweto kyetuumye Tembeya Salaama nga kino kigendererwamu okukendeeza obubeje mu Kampala n’emiriraano.

Police egamba nti mu biseera by’ennaku enkulu, abagoba b’ebidduka tebagoberera mateeka ku nguudo nga kino kimu ku biviirako obubenje.

Aduumira Police y’ebidduka mu ttundutundu lya Kampala, Norman Musinga agamba nti ekiwendo kigenda kutaayiza abo abavuga nga batamiirukuse, abatikka akabindo wamu n’okuvugisa ekimama. Era wano waasinzidde n’asaba abantu okuwaayo Oyo yenna amenya amateeka g’ebidduka.