Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 1,145 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Police eyodde malaaya ateeberezebwa okutta omuzeeyi

June 1, 2016 · Mubiru Ali

Police ye Butambala ebakanye n’omulimu gw’okunoonyereza ku nfa y’ omuzeeyi ateeberezebwa okuttibwa malaaya .

Omukadde ono amannyiddwa nga Mzee Mpande Charles yavudde awaka ne mukwano gwe Nyakuni nebagenda mu kabuga ke Kyabadaza akali mu Disitulikite ye  Butambala okwesanyusaamu oluvannyuma Mzee n’afuna akasenge okunyumya akaboozi ne Malaaya akolera mu Kabuga ako .

Wabula ekiggye abatuuze enviiri ku mutwe kwekusanga  omulambo gwa Mzee ono nga gusuuliddwa mu luggya lwa makage ageesudde akabuga Kyabadaaza .

Aduumira Police ye Buwama Igema Benedict agamba nti bagombyemu obwala Nyakuni ne Nabatanzi Annet (Malaaya) nebabakwasa Police ye Butambala .