Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 127 listening Simba FM Live

Police eyodde emmotoka 80 mu kikwekweto ku lw’e Masaka

August 1, 2016 · Mubiru Ali

Police eriko ebidduka byeyodde wamu n’abagoba baabyo ne bakwatiddwa olw’okumenya amateeka g’ebidduka ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Mu kikwekweto ekikoleddwa enkya ya leero era ebidduka ebiri mu 80 biyooleddwa mu bitundu ebyenjawulo ku luguudo luno Police mwegenze ng’esuula ebiddo naddala ebifo ebisinga okugwamu obubenje wakati wa Nsangi ne Lukaya.

“Buli mmotoka ebadde tesaana kuba ku luguudo, tubadde tugikwata era emmotoka ezisukka mu 80 tuzikutte “. Phillip Mukasa mwogezi wa Police mu Katonga bw’ayogera.