Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 821 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Police eyodde abanywi b’enjaga n’abagitunda – Mityana

April 20, 2017 · Mubiru Ali

Police mu  Disitulikiti y’e Mityana eriko ekikwekweto kyekoze mweyoledde abamu ku bantu ababadde abasaale mu kutunda wamu n’okukozesa enjaga mu kabuga ak’e Busunju.

Abakwatiddwa bawera 9 naye nga ate abamu basobodde okumalamu omusulo nga mubaddemu n’abakyala. Ekikwekweto kino okukolebwa kiddiridde ebikolwa ebitali bimu eby’obumenyi bw’amateeka okukwata wansi ne waggulu mu kituundu kino.

Omwogezi wa police mu kitundu ekya Wamala  Nobert Ochom akakasizza okukwatibwa kwa bano.

Ono agasseeko nti ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka bikolebwa abantu bano oluvannyuma olw’okukommonta enjaga  eno olwo nebakkira abakazi okubakwata ,okusobya kubaana wamu n’okutemula.