Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 207 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Police eyodde 8 lwa njaga e Tororo

June 27, 2016 · Mubiru Ali

Police e Tororo ekoze ekikwekweto  ku balimi n’abasuuzi b’enjaga mu kiro ekikeesezza olwaleero   mweyooledde abantu munaana nga kigambibwa nti  balina emisiri gy’enjaga obwaguuga  ku  kyalo Moro A ekiri mu ggombolola ye Moro mu Disitulikiti ye Tororo.

Police okukola ekikwekweto kino kiddiridde abatuuze n’abakulembeze ku kyalo kino okwekubira enduulu eri Police olw’obumenyi bw’amateeka obukudde ejjembe nga buva ku njaga n’abaana okugaana okugenda ku masomero lwa kugirima nakugisuubula.

Kamuria Soali nga mwogezi wa Police mu kitundu kino akakasizza bino era agamba bano baakuggulwako emisango gy’okulima enjaga.