Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,246 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Police eyisizza ebiragiro byokunguudo ebinaagobererwa ku lunaku lwa Namugongo

June 1, 2017 · Mubiru Ali

Police mu Kampala eyisizza ebiragiro byokunguudo ebinaagobererwa nga abantu bagenda okulamaga ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo olunaku olw’okubaayo nga 03 ogwomukaaga olubaayo buli mwaka. 

Ku lunaku luno abantu abawerako beekuluumulula okuva e bule n’ebweya nga abalala bava mu mawanga amalala omuli Kenya,  Tanzania,  Rwanda,  Burundi,  DR Congo n’awalala.

Bino byogeddwa aduumira Police y’ebidduka mu Kampala awamu n’emiriraano Norman Musinga bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku CPS mu Kampala.

“Emmotoka zaffe ez’obwannannyini,  Takisi ne Bodaboda tezikkirizibwa kuyisa makubo gaffe wetugenda kugasalirako nga ku Kireka Trading center, Bweyogerere Trading Center,  Kyaliwajjala Trading Center,  Kira Town Council Roundabout,  Naalya Roundabout. Temukola ensobi nemuyisa amakubo ago”.