Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 175 listening Simba FM Live

Police eyagala abakulembeze bawandiike abantu mu bitundu byabwe

August 11, 2016 · Mubiru Ali

Police esabye Abakulembeze ku byalo bakole nnyo nga bwekisoboka era bwekigwanidde bawaandiikenga abantu kibasobozese okutegeera obulungi abantu abali mu kitundu kyabwe, kijja kubayamba okulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu kitundu kyabwe.

Kino kiddiridde abantu abawerera ddala bana ; Mugisha Henry(20), Bwambare, John Kikomeko ne Lwere Joshua nga bano abasatu ba myaka 30 okukubwa amasasi mu bitundu by’e Ssalaama mu ggombolola y’e Makindye Ssaabagabo.

Ayogerera Police mu Kampala n’emiriraano Emiriano  Kayiwa agamba nti bano baasangidwa n’emmundu eyabbibwa ku muserikale wa Police e kajjansi bweyali agenda okukola nebamutta.