Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 188 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Police ewenja Kansala agambibwa okukabasanya omuyizi wa Pulayimale – Gombe

February 27, 2017 · Mubiru Ali

Police y’e Kavule ekisangibwa mu ggombolola y’e Gombe mu Disitulikiti y’e Wakiso eri ku muyiggo gwa kansala amanyiddwa nga Kaggwa Eria agambibwa okukabasanya omwana wa myaka 14 nga abadde asoma kibiina kya mukaaga.

Okusinziira ku mawulire agatuweereddwa omukulu w’essomero lya Kavule Junior School e Busakya omwana ono mwabadde asomera, Kaddu Peter, agamba nti omwana Kaggwa yamufunyisa n’olubuto era n’amubuzaawo okumala akabanga bwatyo n’alemererwa n’okukola ebigezo ebimalako olusoma olusooka kubanga yalina erya Mugema .

Radio Simba esobodde okutuuka ku ssomero lya Kavule Junior School wamu n’ewa Kansala Kaggwa naye tasobodde kukubikako  kimunye.