Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 298 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Police etandise okunoonyereza ku kabenje akaagudde e Buwama

July 3, 2016 · Mubiru Ali

Police etandise okunonyeereza ku kyavuddeko  akabenje ddekabusa akaagudde e Kampiringisa – Buwama  ku luguudo lw’e Masaka akawungeezi akayise  omwafiiridde abantu abawera 19 n’abalala abawerako nebabuukawo n’ebisago ebyamaanyi  .

Ng’ayogerako ne Radio Simba , Polly Namaye amyuka omwogezi wa Police mu ggwanga agamba nti mu baafudde , bataano ku bo  bakyala , 13 basajja ate n’omubuka nga emirambo gyabwe giri mu ggwanika e Mulago gikyekebejjebwa .

Ayongerako nti wadde nga balina amawulire nti ddereeva wa mmotoka ya buyonjo kika kya NOAH yabadde ayisa emmotoka nnya omulundi gumu n’ayingirira lukululana , bakyetaagira ddala okwongera okunoonyereza okumanyira ddala ekituufu ekyavuddeko akabenje .

Wabula Namaye atutegeezeza nti basobodde okutegeera ebikwata ku baafudde babiri bokka naye eby’abalala tebinnamanyika .