Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 55 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Police etandise okunoonyerereza ku nfa y’omuyizi w’e Makerere

June 2, 2017 · Mubiru Ali

Police mu ssettendekero wa Makerere etandise omuyiggo n’okunoonyereza ku kiki  ekyaviiriddeko omuyizi wa ssettendekero ono ow’omwaka ogusooka nga asoma essomo ly’okulunda n’okujjanjaba ebisolo erimanyiddwa nga Vetinary Medicine okufa. 

Omulambo gw’omuyizi ono ategeerekese nga Kennedy Kaweesi, gwasangiddwa bweru wa University, kyokka nga abamumanyi bagamba nti abadde asula mu kisulo ekisangibwa mu Kikoni nga asoma lwaggulo.

Omuduumizi wa police era akulira eby’okwerinda mu ssetendekero wa Makerere, Jackson Mucunguzi, mukwogerako naffe, agambye nti omuvubuka ono yaaliba nga yawambibwa kyokka nga tebannaba kuzuula kyaviiriddeko nsonga eno.

Afande Mucunguzi era akakasizza nti batandise okubuuza n’okukwatagana n’abenyumba y’omugenzi Kaweesi, okuzuula oba omuyizi abadde yabategeezaako oba nga yali alinayo obukuubagano n’omuntu yenna.

Mucunguzi era alabudde abayizi ku ssetendekero okubeera abegendereza nga batambula naddala abo abasoma obudde obw’olweggulo olw’abakyala kimpadde abayinza okubatuusaako obulabe.