Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 438 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Police etaasizza abagambibwa okugula amayembe negatigomya ekyalo

January 10, 2018 · Mubiru Ali

Police e Buwenge mu Jinja eriko abantu bana nga bonna ba maka gamu  abasimattuse amagombe beetaasizza ku batuuze ababadde bataamye obugo okubatta nga babalanga okuleeta amayembe ku kyalo negatanula okutigommya  abatuuze.  

Bino bibadde ku kyalo Muwangi ekisangibwa mu Ggombolola y'e Buwenge mu Disitulikiti y'e Jinja nga abatuuze babadde bakkakkanye ku bantu bano  nebabakuba emigoba nte, okusaanyaawo amaka gaabwe ssaako n'ennimiro era Police egenze okubataasa nga katono babakkirize ekalannamo.

Wabula omusasi waffe oluuyi olwo bw'ayogeddeko n'omu ku bakubiddwa n'ategeeza nti ebinoogerwako ssi bituufu n'akatono.