Breaking
News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 292 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Police erwanaganye n’abasuubuzi boomu katale k’e Nateete

August 28, 2017 · Mubiru Ali

Police enkya ya leero ekedde kulwanagana n’abasuubuzi boomu katale k’e Nateete nga beekalakaasa okulaga obutali bumativu bwabwe olw’eteekateeka ewomeddwamu omutwe ab’ekitongole kya KCCA okutunda akatale kaabwe kaguzibwe Kkampuni ey’obwannannyini.

Abantu bano bakutte eby’amaguzi byabwe nebatanula okubitundira mu kkubo ekiwalirizza Police okujja okubasindiikiriza era n’ewunzika ng’ebakubyemu omukka ogubalagala okusobola okubakkakkanya.

Bo abasuubuzi bagamba nti ab’ekitongole kya KCCA nga bakulembeddwamu nankulu wa Kampala Jennipher Musisi bagamba nti akatale kano tebakamanyi, ย ate bbo abasuubuzi bagamba nti oba tebakamanyi lwaki bazze babasoloozaamu ensimbi.

Akatale k’e Nateete kasangibwa mu ggombolola y’e Lubaga mu Disitulikiti y’e Kampala.